Omwana ow’emyaka omusanvu agambibwa okusobezebwaako akaabizza abantu mu kooti bw’asabye nti omusajja eyakimukola attibwe olw’obulumi bweyamuyisaamu
Kiddiridde omulamuzi wa kooti enkulu, Elizabeth Alvidiza okumubuuza kibonerezo ki kyeyandyagadde kiweebwa omusajja gw’alumiriza okumusobyaako
Omusajja kagwensonyi ayogerwaako ye Edward Nsenga nga wa myaka 48 omutuuze we Kifumbira zone e Kamwokya.
Mu kooti yeemu, omusawo eyekebejja omwana ono mw’ategerezza ng’omwana ono bwebamuyuza obutundu bye byonna by’ekyama nga yali takyasobola kusiba bubi
Omulamuzi ataddewo olunaku lwa nga 25 omwezi guno okuwa ensala ye