Bya Ruth Anderah.
Nga kooti ya ssemateeka etegeka okuwulira omusango gw’abemulugunya ku ky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulemebeze we gwanga , nate waliwo omu kubemulugunya awandiise abaluwa nga asaba nti omulamuzi Elizabeth Musoke agibwe ku lukalala lw’abalamuzi 5 abagenda okutuuka ku koot eno.
Ebaluwa eno eyawandiikidwa Male mabiriizi, egamba nti omukyala ono justice Musoke agenda kubaamu kyekubiira, kubanga yazaala omwana mu amyuka omuworereza wa government Mwesigwa Rukuntana songa yaagenda okuba munamateeka wa government mumusango guno.
Ono takomye awo agambye nti alina obukakafu nti omukyala ono Musoke era yazaala abaana 2 mu minister Hillary Onek , kyoka nga o no yoomu kubaawagira ekyokujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga.
Kati kati Mabiriizi agamba nti okusinziira ku nsonga ezo, Musoke agwana agibwe ku lukalala luno.