Bya Sadat Mbogo.
E Buwama wano mu Mpigi police eyodde abavubuka 15 , nga bano batebereza okusobya kubakyala abalenga akaboozi.
Bano basangiddwa mu bbaala eyitibwa One Ten Club mu kabuga kano wabula nga abamu basobodde okwemulula nebadduka.
Atwala police mu kitundu kino Joseph Kamukama agambye nti abakwatiddwa basibiddwa mu kaduukulu ka police e Buwama.
Bano okukwatibwa, kiddiridde abakyala abatunda akaboozi mu bitundu by’eno okwekubira enduulu bataasibwe ku bavubuka bano ababavumbikiriza nga bali ku nguudo nebabasobyako