Bya Rita Kemigisa,
Omukulembeze weggwanga YK Museveni awadde ababaka ba NRM abapya obukodyo kungeri gye bayinza okubaamu abakulembeze abalungi abali somwako ne mu byafaayo.
Bino abyogedde aggulawo olusirika lwabwe e Kyankwanzi, Museveni agambye nti omukulembeze omulungi yooyo anogera eddaga ebizibu bya bantu mu kifo kyokulabikako ku mikolo ngokuziika ne mu makanisa.
Okusinzira ku Museveni, ebyobufuzi ebyokwekuutira akadingidi tebigyakola.
Era awabudde ababaka nga abasing bakyali bavubuka obutakozesa budde bwabwe bubi nga batuuse mu palamenti, bewale enguzi nengedo ebweru weggwanga ezitetagisa.