Bya Prossy Kisakye,
Ekitongole ekitereka ensimbi za bakozi ekya National Social Security Fund kyakuteeka obukadde bwa doola 10 mu bizinensi ezitandika
Bino byogedwa amyuka akulira ekitongole kino Patrick Ayota, nágamba nti bannauganda basanye okwegata ku kitongole kino baganyulwe
Ayota agambye nti bagala webanatukira mu mwaka 2025 nga abatereka ne kitongole batuuse ku bitundu 95%.
Bino abyogeredde mu lukungana olwomulundi ogwokusatu olwa babalirizi be bitabo mu mawanga agali mu buvanjuba bwa ssemazinga Africa