Mu kibuga y’e Mbale amaduuka agasinga gakyali maggale nga abagakolamu abasinga baasazewo besigalire ewaka nga batya nti akavuyo kandibalukawo essaawa yonna.
Abamu batudde wabweru w’amaduuka gaabwe beerasiza luboozi.
Tukitegeddeko nti n’abatunzi b’ebirime baganye okutwalayo ebirime byabwe nga batya okufiirizibwa.
Ate ku siteegi za bodaboda, Taxi ne baasi emirimu gisanyaladde ng’abasaabaze obabalira ku ngalo.
Bwekituuse ku masomero abayizi abamu tebatawanye kugenda kusoma nga n’abasomesa abamu baaganye okugenda okusomesa.
Abazadde baatidde okusindika abaana baabwe ku masomero nga batya akavuyo okubatwaliramu.
Abaana abasinga balabiddwako nga bayenjera ku nguudo zomu kibuga Mbale mu biseera by’okusoma.
Mu tawuni y’e Mbale wakati poliisi ekyayiriddwa naddala ku luguudo lw’e Naboa n’ebitundu ebiriranyewo nga era emmotoka za poliisi ennawunyi zeetala nga namutale omunyageko ente