Poliisi ekyayiriddwa ku makubo agagenda e Mbale.
Oluguudo lw’e Mbale-Tirinyi okutuuka e Iganga poliisi etaddewo emisanvu 3 ku lutindo lw’okumugga Mpologoma, e Budaka ne Naboa.
Mungeri yeemu poliisi eriko abantu 6 b’ekutte ababadde batambulira mu mmotoka ya Toyota highlander UAT 916G nga babadde n’ebifananayi bya Mbabazi munda.
Ate agava mu bitundu bye Bungokho galaga nga omukwanaganya wa Mbabazi mu buvanjuba bw’eggwanga Ahmed Washaki naye akwatiddwa nga era tebakkiriza muntu yenna kumulabako.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon Diana Nandawula ategezezza ng’abantu bonna abakwatiddwa nga byekuusa ku bya Mbabazi bakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe essaawa yonna.