Bya Samuel Ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga YKM akakasiza nga kaakano government bwegenda okuteka amaanyi mu kaweefube ow’okuzimba engudo z’omu bibuga eby’enjawulo
Bwabadde ayogerera ku mukulo ogw’okutongoza omulimo ogw’okuzimba oluguudo olw’etawo olugenda okugatta Shoprite ku saawa ya queen, president agambye nti enguudo ezeewala gamba nga ezigatta Uganda ku mawanga amalala zinaatera okuggwa, kale nga kati ekiddako kulaba nga ebibuga bikolebwako.
Ono agambye nti oluguudo luno olw’okumalawo obuwumbi 295 era lugwere mu banga ely’emuezi 36, lwakuyamba nyo mu okukendeeza ku mugoteko gw’ebiduka ku luguudo lw’entebe.