Skip to content Skip to footer

Ezike eribadde lisinga obukadde li Zakayo lifudde.

Bya Ben Jumbe.

 

Amawulire agenaku getwakafuna galaga nga ezike eribade likira obukadde mu bugwanjuba, obuvanjuba ko n’amasekati ga Africa erimanyiddwa nga Zakayo bwerifudde olw’eggulo lwa leero.

Omukulu Zakayo ono abadde mutaka wano e Ntebe era nga waafiridde nga emyaka akoonye 54

Twogedeko n’akullira ekifo ekya  Uganda Wildlife Education centre James Musinguzi nakakasa okufa kwa musajja mukulu ono.

Ono atutegeezeza nti Zakayo yatandika okunafuwa sabiiti nga 3 emabega, era nga abadde ajanjabibwa okutuusa eggulo lweyatandise okugaana edagala

Leave a comment

0.0/5