Mu disitulikiti ye Mayuge waliwo omubbi w’embuzi gwebokyezza n’abengeya ku kyalo Lugolole.
Omusajja ono atanategerekeka alumbiddwa ebbiina ly’abantu nga atambulira ku pikipiki nebamukuba nebamwokya nga kiteberezebwa okuba nti abadde atambuza enyama enzibe.
Aduumira poliisi ye Mayuge Denis Odoch agamba ne pikipiki omusajja ono kw’abadde atambulira eyokeddwa abatuuze.
Ono avumiridde abatuuze abasusse okutwalira amateeka mungalo.