Skip to content Skip to footer

Ba kansala batabuse lwa musaala

Ba Kansala mu municipaali ye Masaka besaze akajegere lwakulwawo kusasulwa nsako yaabwe.

 

Ba kansala bano bemulugunyirizza mu lutuula lwa kanso olusokedde ddala omwaka guno nga era lwakubiriziddwa sipiika Stephen Lukyamuzi.

Bakansala bano nga bakulembeddwamu amyuka meeya  Henry Busulwa, Sulaiman Ssenyonga n’abalala baatadde Town Clerk Edward Kiwanuka Gwavvu ku ninga anyonyole lwaki bamaze e,yezi 7 nga tebafuna nsako yaabwe.

 

Wabula amyuka Town Clerk  Edward Kiwanuka Gwavvu, asabye ba kansala bano okubawaayo omwezi gumu gwokka okutereeza ebyensasula nga era ekizibu kyava ku byuma bikalimagezi mwebasengekera ebyensasula.

Leave a comment

0.0/5