Waliwo abatuuze bakubye owa poliisi nebamugyamu amanyo.
James Makasi omuserikale wa poliisi ya Jinja road ,yali mukunyiga ebiwundu oluvanyuma lw’abatuuze mu zooni 4 e Mutungo okutwalira amateeka mungalo n e balumba omusirikale wa poliisi akuuma ettaka lya Martin mayeku erisangibwa e Nakawa nebamukuba nga balulanga okuwagira omubbi.
Kigambibwa nti 2011 abatuuze bonna abaali ku ttaka lino erya yiika munana ,Mayeko yalibagobako nasendawo amayumba
Kati bano basazewo okukuba omuserikele ono nga bamulanga kukuuma taka lyabwe