Gavumenti erumbiddwa olw’obutakola kimala kukuuma bannayuganda abali emitala w’amayanja.
Omubaka we Lubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi agamba nti bannayuganda bangi bavundira mu makomera ebweru naddala mu mawanga ga Buwarabu kyokka nga tewali ayamba.
Lukyamuzi agamba nti ate waliwo n’abalala abatulugunyizibwa mu mawanga gyebali era ng’abakikola beyinula nti tewali ajja kubakwata
Wabula minisita akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Okello Oryem agambye nti obuzibu bwebasanze kwekuba nti bannayuganda bangi tebewandiisa ku bitebe bya Uganda mu mawanga gyebabeera kale nga kizibu okubayamba.
Oryemu asuubizza okuvaayo ne alipoota ennambulukufu ku bannayuganda abali emitala wa Mayanja mu wiiki emu.