
Poliisi mu disitulikiti ye Nakasongola ekutte omuyindi lwa buzigu.
Kiddiridde okulumbibwa kwa faamu ya Smart Uganda ku kyaalo Wakasambya nebatta abadde alabirira faamu eno n’okubba ensimbi enkalu
Kigambibwa nti akwatiddwa ye Sigh Ravindha yeeyakulemberamu abazigu abaalumba faamu eno nga bano beebanasula amasasi agatta Sanjey Ramidah eyali agirabirira
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agambye nti omuyindi ono yafunye obutakkaanya n’akulira faamu n’asalawo okumulumba.
Omuyindi ono akyakuumirwa ku poliisi.