Bya Samuel Ssebuliba.
Ekibiina kya NRM kitegeezeza nga bwekigenda okulongoosa mu ssemateeka wakyo nga beetegekera okulonda kwa 2021.
Bino birabikidde mu ntekateeka ekibiina gy’ekifulumizza nga eno yeegenda okugobererwa mu kutekateeka okulonda kwa 2021.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire ssabawandiisi w’akakiiko kano Justine Kasule agambye nti abamu ku bamemba bateesa nti mukulonda abanaakwata bendera okulonda kube kwa kyama, songa abalala bateesa nti kubeere kwakusimba mu mugongo.
kati bino byonna bigenda kukaanyizibwako mu tabamiruka w’ekibiina gwebagenda okutegeka mu November omwaka guno