Omuyaga ogwamanyi gulese abantu abali eyo mu 10 bafu sso nga n’abasoba mu 100 tebakyalina webegeka luba.
Aberabidde n’agaabwe bagamba omuyaga guno guvudde ku nkuba etonye obutasalako okuva ku ssaawa 7 ez’ekiro okutuusa ku makya.
Aduumira poliisi ye Buliisa John Rutagira agamba omuyaga guno era gutikudde obusolya ku myalo egyenjawulo e Butyaba ne Walukuba nga era abavubi ababadde ku gyabwe bebamu ku bafudde.
Wabula agamba tebanamanya muwendo mutuufu ogw’abafudde n’ebibakwatako.
Omuyaga guno era gusanyizaawo n’amasomerao agamu.