
Abawagizi b’ekibiina kya FDC e Karamoja balabudde abakulira ekibiina kyabwe obutesembereza eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ne Gen. David Sejusa.
Abawagizi bano okulabula kuno bakukoze baaniriza eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye mu nsisinkano gy’abaddemu n’abakungu b’ekibiina mu kitundu kino abasoba mu 70.
Omukubiriza w’abavubuka ba FDC e Nepak John Ilukol ategezezza nti yadde nga omukago gw’ebibiina ebivganya gavumenti gwalala okukolagana n’ababiri bano, balina okusooka okwekeneneyezebwa okusooka,
Mu kubanukula Dr. Besigye asanyukidde okufaayo kw’abawagizi bano era n’ategeeza nga emitendera egiwerako bwegigenda okugobererwa nga ababiri bano tebanegatta ku mukago.