
Kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka ne banne abalala 2 badda leero mu kkooti ku musango gw’okutta abantu 9 mu disitulikiti ye Rakai.
Lwakataka, Fangesi Vincent amanyiddwa enyo nga Kanyama ne Emanuel Zinda basuubirwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ye Masaka John Keitirima.
Okuwulira omusango guno kwatandika omwezi oguwedde nga abajulizi bana bebakawa obujulizi.
Omuserikale wa poliisi akola ku kunonyeerza Twaha Semanda, y’alumiriza Kanyama nti yagamba basibe banne nga bweyetaba mu kutta abantu 9 ab’enyumba emu wali e Kyebe nti era y’abba n’essimu y’omu ku bagenzi.
Oludda oluwaabi lwategeeza nti nga ennaku z’omwezi 14th January 2013, Lwakataka, Zinda Fangesi nebanaabwe abalala abatanakwatibwa batirimbula omusumba w’abalokole Steven Mugambe n’abenyumbaye bonna mu tawuni ye Kyebe.