Skip to content Skip to footer

Abagenda okukuba kakuyege e jinja balabuddwa.

Bya Ben Jumbe.

Akakiiko ak’ebyokulonda kalabudde abagenda okwetaba mukunonya akalulu e jinja East nga bwebagwanaokugondera amateeka gokuloda , nadala obudde kwebalina okukomaa.

Kinajukirwa nti olwaleero omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni   agenda Jinja east okunoonyeza munna NRM Igeme Nabeeta akalulu, songa ate ne Col Dr Kiiza Besigye naye agenda kubeera mutaka mu kitundu ky’ekimu okuyiggira munna FDC paul Mwiru akalulu

Kati twogedeko n’ayogerera akakiiko kano Jonathan Talemwa naagamba nti bano bagwana okugondera amateeka gonna, nadala obudde bwebalina okukomekererezaako kakuge waabwe.

kinajukirwa nti okulonda kweno kwalwakuna, era nga abantu 8 bebeetabye mu lwokaano luno.

Leave a comment

0.0/5