Waliwo abagambibwa okuba abatujju bataano abakwatiddwa
Bano bajjiddwaako emmundu 17 n’emotoka enzibe 8
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa omukago gw’abakulira poliisi mu mawanga ga east Africa nga gukolagana n’ogwo ogw’abatwaala poliisi mu mawanga agali mu bukiikaddyo bwa Africa.
Atwala poliisi y’ensi yonna mu Uganda Asan Kasingye agambye nti mu kikwekweto kino mwebasoboledde okununula abantu 8 abaali bakukusibwa nga ku bano musanvu bannayuganda
Mu ngeri yeemu Kasingye agamba nti balina n’enjaga gyebakutidde ku kisaawe Entebbe n’ababadde bagitambuza 12