Bya Moses Ndaye,
Abadde amyuka sipiika wa palamenti, omubaka we’Omoro, Jacob Oulanyah yeyanjudde eri akakiiko kekibiina kya NRM akebyokulonda najjayo empapula okuvuganya kubwa sipiika mu palamenti eye 11.
Oulanya azeemu nategeeza bannamawulire nti waliwo obwetaavu okukyusa engeri palamenti gyekolamu emirimu gyayo, nokuzza obwesiga bwabantu.
Kino agambye nti kyebasaanye okusaako essira mu myaka 5 ejijja, okuwereza abantu okuwangula emitima gyabwe baddemu okubakiririzaamu.
Kati Oulanya agenda kuvuganya nabadde sipiika Rebecca Kadaga, munda mu kibiina.
Akabondo kekibiina kaakuwanda eddusu ku omu ku bano, anavuganya nabebibiina ebiralala mu kulonda kwa Bbalaza.