Bya Ivan Ssenabulya
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margret Mutonyi alaze obwenyamivu olwabazadde bagamba nti bagufudde mugano okugya ensimbi muba ssedduvutto. Mutonyi agamba nti kino kigotaanya emirimu gya kooti era ewatabaawo bwenkanya. Era alabudde abazadde obutaddamu kwesigisa baana babwe muntu yenna kuba eyo gyebafunira ebizibu. Omulamuzi okutaama kyaddiridde ebikolwa eby’okukabasanya abaana batanetuuka okweyogeranga buli olukedde mu district ye Mukono nebitundu ebyetoloddewo. Ategezeza nti ku misango 49 egibadde mu lutuula lwa kooti olwenjawulo, emisango 31 gya kusobya ku baana abatto. |