
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze asoomozezza babaka banne okuteeka ensimbi mu by’obulamu by’ebitundu byebakiikirira.
Nambooze agamba ababaka bano bafuna ensimbi z’obujanjabi wabula absinga tebazikozesa kugasa bantu mu bitundu byabwe.
Agamba kikyamu okusindika amabugo amayitirivu nga abantu bafudde kale nga zisana kutekebwa mu kuzimba malwaliro.
Nambooze bino y’abyogeredde mu lukungaana lweyakubye mu tawuni ye Mukono n’ategeeza nga bbo ab’oludda oluvuganya gavumenti bwebatunulidde kalulu ka nvunuloa bibya nga era bakukozesa Amama Mbabazi okutukiriza kino wabula nga bbo bawagira munna FDC Kiiza Kiiza Besigye.