
Poliisi esabye ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebyamaguzi okuttukiza okulondoola emipiira gy’emmotoka egiri ku katale okutaasa abagoba b’ebidduka amijingirire egivaako obubenje.
Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr. Steven Kasiima agamba akabenje kamu ku kkumi buva ku mipiira kwabika kale nga wandibaawo ekizibu.
Kasiima agamba emipiira mingi egyebikwangala giguzibwa abavuzi b’emmotoka nga ate bbo abalina ez’obwananyini kati bakozesa mipiira mikadde gyebazzemu okusala enjola ky’agamba nti kikyamu.