
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti benyamidde olw’ebyavudde mu palamenti olunaku lwajjo
Palamenti olunaku lwajjo yayisizza enongosereza mu ssemateeka era mu ngeri yeemu ne alipoota eyabadde akoleddwa ku nongosereza zino n’ekasukibwa
Omwogezi w’omukago guno omukulu Wafula Oguttu agamba nti kikaabya amaziga okulaba nti n’abavuganya benyini balemereddwa okugoberera okusalawo okwakoleddwa nebabuukira ku ba NRM.
Agamba nti olukiiko luyitiddwa okuteesa ku kiddako oluvanyuma lw’okusaba kwaabwe okugwa obutaka.
Ono agamba nti bakusisinkana ne ba memba baabwe abavudde ku mulamwa okumanya lwaki baakikoze.