Bya Babra Anyait
Gavumenti ngéyita mu kitongole kyayo ekikola ku bya passport etegeezezza nga bweriko zi passport emitwalo 5 mu 8000 zesanyizzaawo nga abaali nannyinizo balemererwa kuzinona.
Ezisanyiziddwawo zibalirirwamu obuwumbi bwezakuno obusoba mu 40.
Solomon Mundeyi nga yogerera ekitongole kino ategeezezza nga ekyabakozesa kino kwekuburwa ekifo wezikuumirwa ekimala.
Ayongeddeko nga bwewaliwo néndala emitwalo 7 mu 2000 eziri mukwetegerezebwa nga emitwalo 6 ku zino zakomezebwawo amakampuni agaalina okutwala abakozi emitala wámayanja okukuba ekyeyo kyokka negalemererwa.
Kati Mundeyi awadde abantu abatannanona passport zabwe kyokka nga zaggwa dda okukolebwako okuzinona mu bbanga eritasukka myeezi 6 okuva kati.