Bya Magembe ssabbiiti
Poliisi mu district ye Mubende eli ku muyigo gwa ssemaka akidde omwana wamuliranwa we owemyaka 4 namutemateema ebiso namutta nga olumaze okukola ettemu lino nabulawo.
Ettemu lino libadde ku kyalo Lugalama mu gombolola ye Butoloogo eMubende Behengana –Sseemu myaka 35 yavudde mu mbeera nakakkana ku mwana wa muliranwawe Amumpa- Mathias owemyaka 4 n’amutta .
Kitawe w’omwana ono Gumisiriza -Gerald agamba nti tabadde nakizibu kyonna eri muliranwawe nga ekimuvirideko okutta omwana we tamanyi kwekivudde.
Ssentebe we kyalo Beyondeza—Rowrence ategezeezza nga omusajja ono bwabadde asusizza okunywa omwnge nga kyandiba nga abadde akozesa ne biragalalagala oluvanyuma lwa mukazi we okunoba.
Omuddumizi wa poliisi eMubende Byaluhanga Patrick agamba nti batandise omuyiggo gw’omusajja ono era nga aguddwako omusango gw’okutta omuntu.