Bya Moses Kyeyune
Omubaka wa Kyaddondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine atadde poliisi ku nninga okunyonyola lwaki, olutalo lwabwe baluteeka ku kulwanyisa njaga, songa waliwo nebiragalalagala ebirala.
Kyaggulanyi okwemulugunya bwati abadde mu kakaiiko ka palamenti ake ddembe lyobuntu abakulu ba poliisi ne ministry eyensonga zomunda mu gwanga gyebabadde balabiseeko.
Ategezeza nti waliwo abawala nabalanezi ku myaka emitto abetabye mu kunuusa amafuta nabamu nebafiirwa obulamu naye bino poliisi tebifaako.
Wetujidde ku mpewo nga ssbapoliisi essaawa yonna, agenda kwanukula ku kwemulugunya kwbabaka okungi.
Mungeri yeemu ssbapoliisi we gwanga Martin Ocoth Ochola akaksizza akakiiko ka palamenti kano, nti tagenda kuguminkiriza musirikale musiwuufu wa mpisa mu kitongole.
Ochola wano abadde ayanukula ku bimubuziddwa, abasirikale ba poliisi okutulugunyanga ababsibe abateberezebwa okuzza emisango.
Agambye nti okutulugunya musango era abanazulibwa nti bakwenyigiramu bakuvunanwa.
