Skip to content Skip to footer

Abe Mukono bali mu kutya olw’obukyaffu

Bya Ivan Ssenabulya

Abakulembeze mu munisipaali ye Mukono beralikirivu olwendwadde ezekuusa ku buligo Cholera ezandibalukawo.

Bano bagamba nti abatunda ebyo’kulya ku nguundo nebananyini bizimbe ebyokuuma obuyonjo babivaako nga’basinga kabuyonjo zaabwe zajuula dda.

Omumyuka wa mayor we Mukono Jamada Kajoba ategezeza nti waliwo nabata kazambi nakulukutira mu myala mu biseera bino ebyenkuba.

Ono kati alabudde abantu okukuuma obuyonjo okuvira ddala mu maka nabasubuzi ku nguudo nemu butale.

Leave a comment

0.0/5