Entiisa ebutikidde abatuuze be Kanungu oluvanyuma lw’omujaasi wegye lya UPDF okukuba abantu 6 amasasi nebafa.
Corporal . Moses Katungwezi Katoko y’asse abantu bano mu kiro ekikesezza olwaleero nga tekinategerekeka lwaki omujaasi ono anawusse okusasaira amasasi mu bantu babulijjo.
Omwogezi w’amagye g’eggwanga Col Paddy Ankunda ategezezza nti omujaasi ono baamukutte dda era wakubonerezebwa.