Munna NRM Moses Walyomu yeddiza ekifo kye eky’omubaka we Kagoma .
Ono yalangiriddwa akulira eby’okulonda e Jinja Rogers Edward Serunjogi oluvanyuma lw’okukukumba obululu 24,257, naddirirwa atalina kibiina Alex Brandon Kintu n’obululu18,490..
Munna FDC Timothy Batuwa Lusala yafunye obululu 8,149 sso nga Muhammed Bidondole- yafunye 1,248.
Wabula ye Munna FDC ebyavudde mu kulonda teyabikkirizza kubanga okulonda tekwabadde kwamazima.
Agamba abalonzi be batiisiddwatiisiddwa n’amateeka g’ebyokulonda tegagobereddwa.