Gavumenti bongedde okuginenya ku njala eyongedde okukaabya bannayuganda obukoko.
Abantu abalumbibwa enjala beyongera buli lukya nga abasinga banditondoka.
Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akalwanirira eddembe ly’obuntu Jovah Kamateeka agamba luli Uganda yali emanyiddwa nga ensulo y’emmere eri amawanga agaliranyewo wabula tekikyaliwo kubanga gavumenti tekyafaayo.
Okusobola okulwanyisa enjala eno gavumenti nga eyita mu minisitule y’ebigwa tebiraze n’ebibamba kati batandise okugabira abalimi ensigo.