Skip to content Skip to footer

Katikkiro atongozza Luwalo lwaffe 2025

Bya Prossy Kisakye
Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, nga 21 January 2025 atongozza enkola ey’oLuwalo lwaffe ey’omwaka 2025.
Katikkiro Mayiga abadde mu Bulange e Mengo, akubiriza abantu ba Kabaka okwetanira enteekateeka eno nga bwebaakola omwaka oguwedde.
Kamalabyonna ategeezezza nga ensimbi eziva mu Luwalo lwaffe bweziyamba okukola emirimu gy’ebyenkulakulana mu bwa Kabaka.
Amagombolola aokuva mu Massaza ag’enjawulo aga Buganda okuli, Kyadondo, Mawogola, Buddu n’e Bulemeezi gakiise embuga okutuukiriza enkola eno.
Obukadde bwénsimbi 47 ne mitwalo asatu zezikunganziddwa mu Luwalo luno.
Katikkiro asinzidde ku mukolo gwegumu násaba gavumenti elowooze ku kyókuyimbula Dr Kiiza Besigye okuva mu Mbuga gyaludde nga akuumirwa.
End

Leave a comment