Skip to content Skip to footer

Banna Uganda 90,000 bawangala ne mukenenya nga tebamanyi

 

 

By Mike Sebalu
Gavumenti etegeezezza ngábantu 90,000 mu Uganda bebawangaala nákawuka ka mukenenya omwaka 2024 wabula nga tebamnyi bwebayimiridde.
Kino kyava ku bantu bano obutagenda mu dwaliro kwekebeza kumanya butya bwebayimiridde mu mbeera yóbulamu bwabwe.
Okusinziira ku Dr Vicent Kabagambe avunanyiizbwa ku byókuteekerateekera akawuka ka mukenenya mu ministule yébyóbulamu bano kitundu ku mugatte gwábantu 1,500,000 abawangala ne mukenenya mu Uganda omwaka 2024.
Ku bano, 1,410,000 bekebeza era bakimanyi nti bawangaala ne mukeneya era nga 1,269,000 bali ku daggala.
Kabagambe abadde wamu nábakugu abalala okuva mu Uganda Aids Commission ne UNAIDS (eky’amawanga ámagatte) ekilwanyisa mukenenya nga boogerako eri bannamawulire ku mbeera ya mukenenya nga bweyimiridde mu nsi yonna ne mu Uganda yonna okutwalira awamu.
Okusinziira ku United Nations Program of HIV/ HIV (UNAIDS) omuwendo gwábantu abawangaala ne mukenenya mu nsi yonna gwongedde okukendeera okusinziira ku alipoota eyafulumiziddwa sabiiti ewedde mu gwanga elya South Africa.
Ebibalo bilaga nti omuwendo gwábantu abakwatibwa nagwo gwesaze n’ebintu 40 ku 100 bwogerageranya nebwegwali omwaka 2010.
Alipoota era eyongedde okutegeeza nti mu mwaka oguwedde, abantu abawangaala nemukenenya mu nsi yonna baali 41,000,000 nga 1,300,000 baali bapya ate emitwalo 12 ku bapya baali baana.
Akulira UNAIDS mu Uganda Jacqueline Makokha ategeezezza ng’amawanga ku semazinga Africa wansi wéddungu Sahara gegakyasinze okubeera n’abantu abakwatibwa mukenenya kyenkana ebitundu 50 ku 100.
Makokha wabula agamba nti okukendeera kwobulwadde tekimala nga ekyetaagisa kwekugwerawo ddala.
Bwatuuse ku muwendo gwábantu abafa ebilwadde ebyekuusa ku mukenenya, Makhoka ategeezezza nga nabo bwebakendedde kyenkana ebitundu 50 ku 100 bwogerageranya bwegwali mu 2010.
Omwaka oguwedde, abantu 630,000 bebaafa wabula nga 75,000 baali baana.
End

 

Leave a comment