Mu ggwanga lya Bungereza , waliwo ekitanda ekikoleddwa nga kino kikukasuka n’ogwa wansi ssinga obudde bw’okuzukuuka butuuka.
Omusajja ayiiyiza ekitanda kino afulumizza akatambi ng’ekitanda kino nga kino kiriko akadde akavuga olwo nekikasuka akiriko.

File Photo: Omukazi nga teyekozeeko
Omusajja alabye mukyala we nga teyekozeeko asazeewo bawukane.
Omusajja ono takomye awo , omukazi ono agenda na kumuwaabira mu kkooti lw’okumubuzabuuza nti mulungi kyokka nga mubi.
Bino biri mu ggwanga lya Australia, omusajja gy’abadde yakakuba mukyala we empeta kyokka mu kuzuuka ku makya , eriiso alikubye ku mukyala we nga tanekuba copagaalo n’akyankalana

File Photo: Omukungu wa Makerere Kagonyera kudyo
Obadde okimanyi nti emikwano gy’obeera nagyo giyinza okukuyamba okuwangaalira ku nsi.
Kati bannasayansi bazuddenti omuntu gyakoma okubeera n’emikwano emisanyufu awangaala kubanga taba na budde bwewunika.
Kyokka era bano bagamba nti ate emikwano bwegisisinkana mu bibinja gisanyuka era abantu abo bawangaala

File Photo : Owa police nga akwata omukazi
Waliwo omukyala aggaliddwa lwakutulugunya mupoliisi ng’akozesa amabeere ge
Omukyala ono Lai-ying ow’emyaka 30 okuva mu HongKong aggyeeyoa mabeere n’agalaga omupoliisi abadde amukutte mu ngeri gy’okumugulirira.
Omupoliisi ono abadde agezaako okukwata omukazi ono akuttemu bbeere.
Omusajja eyemakulidde mu ggaali y’omukka n’atandika okukyaginga essimu mu ggaali empingi y’eramudde
Bino bibadde mu kibuga London
Omusajja ono agguddwaako misango gyakutatagaanya masanyalaze ga ggali ya mukka
Waliwo omusajja akwatiddwa ng’ono ayiiridde mukyala we supu ayokya olwo n’amusiba ng’abadde ayagala kumuvumbika mu Oven.
Joseph Anthony okuva mu kibuga Sandy asoose kufumita mukyala we biso, okumukuba ebikonde n’ensambaggere kko nokumufumita akaso mu lubuto
Ekinyizizza omusajja ono mukyala we butagenda kumukyalirako ku mulimu gy’akolera nga bw’abadde akola bulijjo
Omukyala abadde ali mu kwemalako ejjakirizi ng’akozesa obusajja obujingiire akoze akabenje.
Omukyala ono ali mu myaka nga 30 ng’abadde ayambadde enkunamyo atandise mpola okwekwatirira era ekiddiridde kusokooloya ekipiira kye ky’akozesa okwemalako ejjakirizi
Bino byonna bikwatiddwa ku kamera

Omusajja ayise akavubuka nekamwanukula nga kamuvuma aguze ssabbuuni n’akanaaza mu kamwa ng’agamba nti kasusse
Omusajja ono enzaalwa ye Bungereza akaana k’awadde essomo ka myaka mukaaga
Wetwogerera nga naye awerennemba nga misango gyakutulugunya bbujje

File Photo: Abagalana nga be nywegera
Omusajja akaligiddwa emyaka ebiri mu kkomera lwakunyumiza kaboozi mu maaso g’omwana ow’emyaka 3
Jose Caballero ow’emyaka 40, Elissa Alvarez, 21, omukwano gwabalinnye okukkakkana nga bazze mu bigwo mu maaso g’ebbujje
Bano baabadde ku lubalama lw’enyanja era ng’abakutte akatambi nebakawa poliisi beebavuddeko omusajja ono ne muganzi we okukwatibwa

Abazadde abagenze ku lubalama lw’enyanja n’omwana bamwelabidde n’asengejjera ku mazzi.
Omwana ono ow’emyezi 10 abadde mu kibaya nga kino kyekirengeddwa abantu nga kisengejjera ku mazzi nebakigoberera okusanga nga mulimu omwana.
Abazadde mu kubanoonya babasanze bali mu mukwano omuzibu ku lubalama lw’enyanja nga bweboota musana
Bino bibadde mu ggwanga lya Turkey