Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Blatter akunze ku bumu

Akulira ekibiina kya FIFA Sepp Blatter obubaka bwe bwetoololodde ku bumu ng’okulonda omukulembeze omuggya kugenda mu maaso. Okuonda kuno kujjidde wakati mu kunonyereza ku nguzi efumbekedde ekibiina kya FIFA nga waliwo n’abakwatibw agyebuvuddeko Blatter asuubirwa okulya ekisanja ky’okutaano asabye abantu okuba obumu okusobola okutwaala omuzannyo gw’omupiira mu maaso.

Read More

enjaga mu bimuli

Abaddukanya ekibuga ekimanyiddwa nga Kazakh batandise okunonyereza ku njaga ebadde erimibwa mu bimuli by’ekibuga Abatuuze beebalabye ng’ebimuli bijimuse nga bijjuddemu njaga ng’ebadde ewunya n’okuwunya ku nguudo Abaddukanya ekibuga kino bagamba nti bagala akuzuula oba enjaga eno yalimwa mu butanwa oba mu bugenderevu

Read More

Ono kimuweddeko

The Remarkable Moment Rebekah Sees Brother's Donated Face Omukyala eyafiirwaako mwanyina ebigambo bimuweddeko bw’asanze omusajja omulala ng’alina feesi y’ey’omugenzi Richard Norris ow’ewaka 39 feesi ye kumpi yaggwaawo bweyekuba amasasi mu butanwa mu mwaka gwa 1997 kyokka n’aweebwa feesi endala ey’omusajja eyali afiiridde mu kabenje Omukyala ono olulengedde omusajja ono asoose kusooka kuwakana ng’alowooza alabye muzimu kyokka okumusemberera n’amukwatako…

Read More

Ayidde

Omusajja eyawalampye ekizimbe ng’ali bukunya, bamujjeeyo tamanyi kiri mu nsi oluvanyuma lw’ekyuuma okumwokya Omusajja ono tategedde nti abadde ayimiridde wakati w’ebyuuma era omukka gwebifulumya gumubabudde yenna Ekimututteyo nze naawe kyokka nga bibadde mu kibuga Florida

Read More

Ono talina bbuba

Abasajja bangi bwebategeera abasajja ababagaalira abakyala babajjirayo majambiya Ssi bwegubadde eri omuvubuka ategedde nti mukyala we abaddeyo n’omuvubuka ebbali Ono ng’ayita mu ssimu ya mukyala we afunye essiimu ya musangi we n’amuggulako omukwano era okukkakkana nga balidde ekyemisana Omusajja ono agambye nti abadde ayagala kumanya kiki musajja munne ky’amusingako Bibadde mu ggwanga lya China.

Read More

Okutuula ku ttooyi kibi

Abantu bangi ennaku zino bettanira kabuyonjo enzungu ezitulwaako naye obadde okimanyi nti kibi okutikkula ng’otudde Ekitabo ekijja ekifulumiziddwa kigamba nti buli lw’otuula ng’ofuluma etuulira emisuwa era nga kisobola okuvaako obulumbi ng’omuntu afuluma Awandiise ekitabo kino amanyiddwa nga Enders agamba nti omuntu asaanye okusitama okwewala ebizibu bino byonna

Read More

Embizze yerippye ku mukazi

Waliwo embizzi eyakula n’ewola egezezzaako okugwiira omukyala okumukaka omukwano mu maaso g’emmotoka ye Kino kibadde mu ggwanga lya New Zealand ng’omukyala ono asoose kugoba mbizzi eno ebadde wakati mu luguudo w’abadde alina okuyita Omukyala ono afulumye mu motoka okugigoba kyokka n’emusimbako era okukkakkana ng’emujjeemu empale gy’abadde ayambadde Omukyala ono ataasiddwa omusajja abadde alaba bino kyokka nga yenna emuleseeko…

Read More

Atambuzza ekidomola afunye emitwalo 40

Omusajja ow’emyaka 33 atambudde mailo 16 n’ekidomola kya liita 20 nga tawummuzza era neyewangulira emitwalo 40 Japhet Mwebembezi omutuuze we Kyanamukaaka atambudde olugendo lwa mailo 16 mu mpaka z’abaddemu ne munne ategerekese nga Paul Muwonge Mwebembezi ategeezezza abatuuze nti asobola okutambula okuva e Kyannamukaaka okutuuka e Masaka mu tawuni n’ekidomola ky’amazzi kino nga tawummuzza nebamuwakanya era nebasiba…

Read More