Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Beeyambudde kutunda kkampuni

Mu kibuga Newyork, kkampuni ebadde ekyuusa erinnya esazeewo kukikola ng’abagikulira bonna beyambula nebasigala buswa olwo nebasimab enkalala okutunda erinnya eppya Bano banoonyezza engeri gyebayinza okutunda erinnya eppya nga tebagiraba kwekusalawo owkeyambula Wabula tebibadde byangu, anti abakozi bamaze ebbanga nga bakola exercise okusobola okulabika obulungi nga beeyambudde

Read More

Afukidde enjuki ataawa

Omusajja afuse ku muzinga gw’enjuki alifa tazzeemu kukikola . Enjuki zino zimutabukidde okukkakkana nga zimulumye kamaanya Ono abadde mu motoka etambula nebayimirira okufuka. Enjuki zino nno z’atankudde tezikomye ku yye naye n’okulumba abalala ababadde bakyaamye mu nsiko.   Bibadde mu Vietnam

Read More

Lwaki toyagala mukyala wo- sasula

Omusajja agambye mukyala we nti takyamwagala atanziddwa Kiddiridde omukyala okumuwaaba ng’agamba nti ekigambo kino kyamukubye wala era nekimuwa ebirowoozo bingi. Kkooti egambye nti kituufu omusajja yakoseza ebigambo ebikambwe ennyo ebyaleka mukyala we n’ebirowoozo kko n’okunyigirizibwa. Bino bibadde mu ggwanga lya Turkey.

Read More

Obusajja bwe bubuze

Omusajja asanze omuwala omubalagavu mu sawuna n’amunywegeera agenze okuzuukuka ng’ebitundu bye eby’ekyama tabirabako. Kigambibwa okuba nti omuwala gw’anywegedde  abadde alina eddogo eritutte ebitundu bye ebyekyama n’abiguza abasawuzi Bino bibadde mu kibuga kya Russia ekikulu Moscow ng’omusajja ono kati asiiba akaaba

Read More

Kkapa ewuga

Wali olabye ku kkapa ewuga Kakati mu ggwanga lya Turkey waliwo ka kkapa akatawoomeddwa kukuba dduba nga kasula katudde Ka Kkapa kano akayitibwa Ruby buli omu abadde amanyi nti kanabbira kyokka nga mu bukkakkamu kalengejjera ku ngulu nga konna bwekazibiriza obuuso mu ngei y’okunyumirwa  

Read More

Enviiri zibizadde

Wandikoze ki ssinga omuntu akusala bubi enviiri oba katugambe okukusiba Kati mu ggwanga lya America, omusajja gwebasaze obubi enviiri avudde mu mbeera n’ayasayaasa saaluuno yonna mw’alaze Allan Becker tasiimye bwebamusaze nviiri mu ngeri gy’atayagala  kyokka ng’ate bamusaba ssente Ono olumaze n’atambula era poliisi egenze okutuuka nga yabombye dda

Read More