Waliwo omusajja enzaalwa ya Bungereza atendese embwa ya muganzi we okumuwereeza bbiya
Omusajja ono amanyiddwa nga Ben yasooka kukolawo mukwano n’akabwa kano ng’ayita nako buli wamu
Kati azze agiyigiriza mpola okuggulawo firiigi n’ejjayo bbiya n’emuwereeza era nga mwattu omulimu egukola bukwakku
Mu ggwanga lya America, omusajja asudde obumonde mu kabuyonjo n’ezibikira, akubidde abaziinyamooto okumuyambako oluvanyuma lw’amazzi okubimba
Omusajja asoose kuyita poliisi nga tejja kwekuyita abaziinyamooto.
Abaziinyamooto bwebatuuse ku kizimbe bagobye buli omu abadde ku goloofa kw’asula kyokka yye
Omusajja eyafa edda akimazeeko abantu bw’azze okwetaba ku lumbe lwe ng’abwakuba omulanga omuzibu
Guo Liu, 45 nga nzaalwa ye China yafa emyezi esatu emabega bweyali agenze awutu ne mikwano gye
Omusajja ono gw’oyinza okuyita omuzimu azze yefuuyira ka sigala era abantu nebabuna emiwabo
Ebiyenje bitawaanya bangi nga n’ababeera mu Taiwan bibalumba
Kati omukazi abadde ayagala okutta ekiyenje n’akikumako muliro amalirizza effumbiro alyokyezza
Omuliro guno alese gwaaka n’ateekako kakokola tondeka nyuma.
Mu Florida kkapa eyatomerwa emmotoka n’efa amazeeko abantu eby’ewungula bw’efubutuse mu ntaana nga nnamu nnyo
Ebadde amaze ennaku ttaano mu ntaana.
KKapa eno emanyiddwa nga Bart yasangibwa mu kitaba ky’omusaayi wiiki emu emabega era okugituusa mu ddwaliro abasawo nebategeeza nga bweyali efydde
Okulabikako, kkapa eno ebadde ekankana, n’emenyese oluba n’eriiso nga litunguseeyo
Kubamu akafaanyi ng’olabye munne ng’alina w’alaalidde.
Bangi baseka nga tebalowooza na kukyakuyamba banaabwe
Tewali njawulo ku bisolo nga bwegubadde ku mbwa erabye kkapa ng’eralidde mu kikebe.
KKapa eno yabadde eringiza mu kikebe olwo omutwe negulemerayo.
Embwa yasoose n’efa enseko kyokka oluvanyuma yadduse n’eduukirira kkapa eno n’egisika ekikebe ku mutwe
Omukyala agamba nti yafa n’azuukira agamba nti yatuuseeko mu geyeena n’sangayo omuyimbi Witney Houston ne Muammar Gaddafi.
Sisita Linda agambye nti yatambudde ne yeesu n’amulagira okuzza obubaka eri abo abakola Witney ne Gadhafi byebaali bakola.
Waliwo omusajja eyava ku mmere y’ensi nga yye alya mmere ya mbwa.
Phillip Wells kati bamukozesa kugezesa mmere ya mbwa ekoleddwa oba nungi oba nedda.
Abasawo mu America balaze okutya nti omusajja ono yandituuka natandika okweyisa ng’embwa omuli n’okuboggola.
Omusajja ayagadde okusanyusaamu mukyala we bw’ayiye obupiira bw’abaana nebubuna enju yonna
Omusajja ono apangisizza motoka namba ereese obupiira buno n’ebiyiwa ewaka
Omukyala ono mu kukomawo asoose kuggula garage ng’ekubyeeko obupiira buno era oluyingidde mu nyumba kimuweddeko omupiira buno bwebutandise okumuvuga nga mutabani we ne bba bwebamusekeredde ekimukaabizza amaziga mu ssanyu
Abantu abalimu obubbi tebalemererwa.
Mu ggwanga lya Costa Rica , waliwo omukyala akwatiddwa ku katambi ng’avubiika TV mu sikaati.
Omukyala ono abadde agenze mu dduka ly’ebyamasanyalaze asoose kwebuzabuuza ng’agula era ageze tebamulaba n’asitula TV n’agikuba mu sikaati.
Omukyala ono amaze okukwatibwa kyokka ng’agaanye okunyonyola abapoliisi engeri gyeyakozeemu ekintu kino.