Mu ggwanga lya Germany, namukadde alengedde ebibe nga byegadangira mu nnimiro ye obutamala asazeewo kubiyingizaamu poliisi.
Peter Komoll,agambye nti eky’ebibe bino okutwaala essaawa empanvu kimutiisizza era ng’alowoozezza nti oba bibadde byeremeddemu.
Abapoliisi bbo nno tebatawaanya kujja era mu nseko enyingi bamusabye akubire abakungu mu nsonga z’ebisolo.
Mu ggwanga lya China,omukyala akutte bba ng’ayenda amusazeeko obusajja n’amuleka ng’ataawa
Omukyala ono nno tasaaga kubanga yadde omusajja ono bafubye okumutaasa, amulumbye ne mu ddwaliro n’agezaako okubusalako ogw’okubiri
Omukyala ono okutabuka agudde ku bubaka, bba bw’abadde yeweereza ne muganzi we .
Omukyala ono okukola kino akozesezza makansi era nga n’ogw’okubiri bw’akasazeeko akakasuse okuyita mu dirisa embwa n’ekalya
Ensi eno kituufu erimu abalalu
Mu ggwanga lya Russia, waliwo abagalaana abayingidde mu kifo ekinywerwaamu ka chai nebatandika okusinda omukwano nga buli omu abegese amaaso.
Bino babikoledde mu katebe akamu okutuulwa abanywa ka chai.
Ekyewunyisa nti ababalabye bakubye enduulu n’okusakaanya n’okukwata buli kimu ku katambi kyokka abamu beevuddemu nebabalumba nebabalagira okujjawo obugwenyufu bwaabwe
Embwa eyazaalwa ng’erina amaaso agalina langi ez’enjawulo ebuliddwaako w’etuula nga buli omu agyesamba.
Embwa eno emanyiddwa nga Molly nga ya mwaka gumu negyebuli kati terina w’ebeera
Eriiso lya Molly ono erimu lya kitaka ate eddagala lya Blue
Omukadde abadde ku kompyuta neyesiba, aleese kyuuma ekikaza enviiri n’atandika okugifuuyira yesumulule bwebamugambye nti ebadde yekutte.
Omukadde ono alese ababadde mu wofiisi mu kibbo ky’enseko agambye nti enviiri ze bwezikwata akozesa drier kale ng’abadde agamba nti anayambako.
Abantu bangi beeyambaza emijoozi egiriko ebigambo ebisoomooza ate ebirala nga bisesa
Kati yye ayambadde akajoozi okuli ekigambo nti “nnina Enjaga” akaabye agajulujulu, poliisi bw’emuzinzeeko.
Naye nno ebigambo bino oluusi byandiba ebituufu kubanga era omusajja ono asangiddwa n’enjaga.
Abantu bangi bekebejja byebalya era banyiga okugwa ku byebatategeera.
Kati nno omuwala agenze mu restaurant okugula chips ne chicken bimuweddeko bw’asanzeemu enjala empanvu mukaaga
Mollie Howe enjala zino azirabidde waka gy’abadde atutte emmere okuliira
Nyina w’omuwala ono enzaalwa ye America agamba nti ekisinze okumunyiiza kwekuba nga babadde tebakuasobola kuzzaayo bya kulya bino.
E sembabule omusajja atanzizza muliraanwa we 200,000 lwakulagajalira kappa ye n’efa.
Paul Mugula omutuuze ku kyalo Matete y’atanzizza Everest Mukasa ensimbi zino oluvanyuma lw’okumusaba okumuyambako ne kappa ye emuliire emmese ezaabadde zisusse mu nyumba ye wabula n’atajirabirira bulunji n’efa.
Mukasa olusanze kappa eno nga efiiridde ku lubalaza, ajitutte ewa nanyini yyo akubye omulanga n’amulagira agisasule mangu nga…
Mu ggwanga lya China , waliwo omukyala asazeewo okussa sitoovu mu mmotoka ye ng’ayita nayo olw’obutiti obususse
Omukyala ono agambye nti kino kijja na kumuyamba okwefumbira ku mmere obutafa njala
Sitoovu eno essiddwa mu mutto gw’emabefa ng’erina omudumu ogufulumya ekikka okuyita mu luggi lw’emotoka.
Omukyala nakampaata akonkonye ng’eyali bba tamuggulira asazeewo kuyita mu mudumu ogussibwa ku kiyungu okufulumya omukka.
Omukyala okuva mu California wabula tebimugendedde bulungi bw’alaalidde mu mudumu gumu.
Abaziinya mooto bayitiddwa bukubirire oluvanyuma lw’okuwulira enduulu okuva mu kidumu.
Omukyala ono ow’enzaalo essatu avuddeyo nga yenna atuyaanye nga n’ebisago ku mubiri gwe nfofoolo.
Tekinnamanyika lwaki abadde azze ew’eyali bba.