Skip to content Skip to footer

Kapa ebizadde

cat

E sembabule omusajja atanzizza muliraanwa we 200,000 lwakulagajalira kappa ye n’efa.

Paul Mugula omutuuze ku kyalo Matete y’atanzizza Everest  Mukasa ensimbi zino oluvanyuma lw’okumusaba okumuyambako ne kappa ye emuliire emmese ezaabadde zisusse mu nyumba ye wabula n’atajirabirira bulunji n’efa.

Mukasa olusanze kappa eno nga efiiridde ku lubalaza, ajitutte ewa nanyini yyo akubye omulanga n’amulagira agisasule mangu nga okusooka abiyise bya lusaago okutuusa bwebigweredde ewa ssentebe w’ekyaalo.

Wabula abamu ku baliraanwa bavumiridde ekya Mugula okusasuza munne kappa gyooli yeyajisse.

Leave a comment

0.0/5