Mu ggwanga lya Amerika waliwo omukyaala agobeddwa ku nyonyi lw’akabizzi k’abadde atambula nako okufuuka ekizibu nga kaleekanira abalala.
Abasabaze basoose kugumikiriza kerere wabula tekimalidde kabizzi kano nekoonona mu nyonyi era olw’ekivundu banji nebatabuka.
Enyonyi olubadde okugwa okufuna abasaabaze abalala nakyaala ono n’alagibwa ave ku nyonyi ne kalufuluuta ke akabadde kafuuse ekizibu.
Mu kibuga Newcastle ekisangibwa mu ssaza lya Penyslvania mu America, abatuuze batandise okwaamuka ekyaalo lwa kuwumya bubi bwa kkapa n’omusulo
Tekinnategerekeka lwaki ekyaalo kyonna kiwunya kyokka nga buli omu enyindo atambula azibinudde
Kati abakola ku butonde bwe’nsi batandise okunonyereza wwa awava olusu.
Waliwo omuzungu akoze amakerenda ng’omuntu bw’agamira abadde ow’okuyisa omukka omubi aba avaamu kawoowo.
Omukka guno guyinza okuwunya ng’ekimuli kya roosa oba choclate
Christian ow’emyaka 65 agamba nti amakerenda gano aga capiso gawagiddwa dda ab’ebyobulamu mu bufaransa era nga gayamba n’okusumulula olubuto.
Kati bw’oba olowooza nti abatalina nsonyi baweddeyo, ate n’owulira bino.
Mu kitundu kya Nottingham mu Bungereza, tiimu nnamba ey’omuzannyo gwa Hockey eyingidde mu kisaawe ng’ri bukunya
Eno era ekwataganye n’endala nga nayo eri buswa
Bano basoose kwekubisa bifananyi era nebasimbula nga teri yadde eyebwaalabwaala.
Abavubuka bano bagambye nti kino bakikoze kubanga bakkiriza mu kwetaaya
Mu ggwanga lya Buyindi, waliwo omwana azaaliddwa ng’alina embiriizi munaana
Omwana ono alina emikono ena, n’amagulu ana
Abantu batandise okwekulungulula okugenda okulaba ku mwana w’ekika kino abangi gwebagambye nti akakasa nti mu butuufu katonda atonda
Embeera eno kigambibwa okuba ng’eva ku balongo okwegattira mu lubuto nga batonda
Ababyanguya bagamba nti okuzaalibwa kw’omwana ono kabonero akalaga nti enkomerero etuuse
Akatambi akalaga bannamukadde basatu nga banywa enjaga mu bubba katunda nga keeki eyokya
Abantu abasoba mu bukadde 11 beebakalaba akatambi kano akakwatiddwa mu Washington ekya America.
Abakadde bano abasatu nga bonna bakyala balabwaakko nga bagabana omusokoto gw’enjaga nga bwebazannya ne matatu
Wabula oluvanyuma lw’eddakiika nga ttaano, abakadde bano balabika ng’enjaga ebakubye nga bamyuuse amaaso n’okuseka amajeemulukufu
Baasi esoose obutakozesa mafuta ng’ekozesa kazambi olwaleero etandise okutambuza abantu
Baasi eno etuuza abantu 40 ekoleddwa ba yingiya okuva mu Bungereza
Abagikoze kyebagaala kwekukendeeza ku mafuta agakozesebwa mu byentambula n’okukendeeza ku motoka ezifulumya erikka
Kubamu akafananyi ng’obadde onywa akatunda ko , abasajja abampadde obukokoolo nebayingirawo nga tobamanyi ate mu kiro.
Manyi bangi bafukamira ate abalala banoonya awalala aw’okuddukira.
Ssi bwegubadde ku musajja enzaalwa ye Russia asigadde ng’anywa akatunda ke yadde alumbiddwa ka bakanyama 35
Omusajja ono abadde mu kafo akalirwaamu, banne bonna badduse kyokka yye asigadde yemiisa
Bangi batandise okubinawuuza nti omusajja ono…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akubidde enkambi ya Uganda Cranes essimu e Morocco era n’abazzamu amaanyi.
pulezidenti awadde omutendesi wa Cranes Micho Sredejovic ku bukodyo bw’okuwangula omupiira gwebagenda okuzannya n’eggwanga lya Guinea olunaku olwenkya era n'abawa amagezi obutazanyira ku puleesa okusobola okumegga Guinea.
Yye kapiteeni wa Cranes Andy Mwesigwa ategezezza nga bwebagenda okufiirawo okumegga Guinea okusobola okwesogga empaka za…
Ekibinja ky’ab’oluganda ababadde balambula omusiri gwa kasooli mu America bayise poliisi lubaluba oluvanyuma lw’okubulira mu musiri
Bano babadde balambula omusiri oguweza yiika 63 nga batandise okwebulako mpola okukkakkana nga basobeddwa
Poliisi ekirungi etuuse mu budde n’ebakwataganya wakati mu ssanyu