Omusajja avuze emmotoka butereevu okutuuka mu bbaala webasabira omwenge n’asaba eky’okunywa
Gordon Milligan tatawaanye kusiba kuva mu motoka eno ng’ayiseewo buyisi n’emotoka ye okutuuka munda olwo n’asaba bamuwe ka bbiya
Ababadde mu baala bakanyizza nduulu na kubuna miwabo naye ng’omusajja abayisaamu mmotoka
Kkyo ekizimbe mw’alese alese kiyiise era nga nyini kyo mu kifo ky’okuwereeza bbiya ayise poliisi ekutte…
Bannamawulire bamanyiddwa boogera kuno na kuli.
Wali obadde ku mpewo n’owulira ng’aliko akulimba
Kati mu ggwanga ya Bungereza, abadde ku mpewo asabye ettaka limumire bw’awakanya nti Ireland teri mu Bungereza
Ono akanyizza kweseesa majemulukufu naye nga tewali kyakuzza
Kati manyi bangi balowooza nti mbalimba
Omukyala abadde ali ku mirimu emikulu mu kabuyonjo, bimuweddeko omusoto ogwakula bwegumubozze
Omukyala ono ow’emyaka 57 enzaalwa eya Thailand, omusota guno gumusimbye amannyo ku mukono n’okugezaako okumwetoloola okumukuba ekigwo
Wabula akutte olweeyo lw’ekiti n’akuba omusota guno nga bw’ayita nemuwala we omuyamba neyetawuluuza ku musota guno
Omusota guno olumaze negwefubitika mu Kabuyonjo kyokka nga tekinnategerekeka oba gufubutuse wa
Omusajja abadde avuga enyonyi enyonta y’omwenge n’emukwata, agisimbye wabweeru wa baala olwo neyewaamu
Omusajja ono enzaalwa ye Australia olumaze okugisimba, yesozze ebbaala n’anywamu
Poliisi nno ayanguye okumussaako kawunyemu kyokka ng’ayiseewo .
Ekyewunyisa omusajja ono agambye nti talina bbaluwa evuga nyonyi kyokka takoonangako
Mu ggwanga lya China omukyala ayagadde okukakasa oba bba tamulekeewo nga bakaddiye amalidde mu maziga
Omukyala ono abadde agenda okugattibwa ne bba asazeewo bamusseeko make up amufuula omukadde era nebakimukolera
Omugole omusajja olumukubyeeko eriiso n’ava mu mbeera n’atandika okuyomba era nga yyo embaga wetwogerera esaziddwaamu
Abagaazi b’omwenge gyebali nga bbo bayiiya engeri yonna gyebayinza okugufunamu ate nga tebatawaanye
Kati mu Australia, omusajja ayigirizza embwa ye engeri y’okumuwereeza omwenge okuva mu firiigi
Josh embwa eno agiyigirizza nga buli lw’ayogera nti awulira enyonta, ng’embwa eno edduka eggulawo firiigi, n’ejjayo eccupa ya bbiya ng’ekozesa amannyo
Omusajja ono agamba nti buli lw’alaba embwa ye ng’emuwereeza, ng’essanyu libula…
Omukazi asanze omusajja nga yeberese ku mbwa ye emundu yemuzizza engulu
Alice omusajja ono amasanze mu nnimiro yaabwe nga yeemalira eggoga ku mbwa
Omukazi ono akubye amasasi mu bbanga kyokka ng’ekyewunyisa nti omusajja ono tayimirizzaamu asigadde yefulubejja
Kati ebiseera ebisinga tuwulidde empaka nyingi ezewunyisa okuli n’ezabasinga okunywa omwenge.
Kuluno mu kibuga Portland mu ggwanga lya Amerika abasinga okubeera n’ebirevu ebiwanvu bebavuganyizza.
Ba mandeevu abasoba mu 300 besowoddewo neboolesa ebirevu era buli musono gubadde wali okuvira ddala ku bilimu envi n’ebirala.
Madison Rowley y’anywedde ,mu banne akendo nga ono era kati ye mandeevu wa Portland.
Omuwala abadde yalimba muganzi we nti kiggala abikooye n’amubuulira amazima
Omuwala ono agamba nti nga yakalaba muganzi we yamugamba nti kiggala mu by’okusaaga ng’amulemesa kyokka kyamuggwaako omusajja ate bwekyamusanyusa n’ayongera okumwagala
Omuwala ono agamba nti wabula abadde akooye okwebuzabuuza ng’alina okwefuula atawulira
Agambye nti oluusi ayita ku mbwa neziboggola neyekaza ng’atawulidde ng’afa entiisa era nga…
Omwana omuto muzibe kyokka nga takuba nnanga bitooke by’ebigwa afuuse ekyelolerwa
Omwana ono wa Myaka esatu nga kyokka ayagala nnyo okuwuliriza enyimba
Omwaka guno emabega, Branko ono eyazaaliwa nga muzibe yatandika okukuba ennanga era buli lukya ayongera okuyiga .