Olwali
Kamulali alamudde
Kubamu akafanyi ng’olaba fiirimu yo nga neyiba wo ali ku ssimu ye azannya naye ng’akuwogganira Kati omusajja abadde atudde okumpi n’omukyala n’amusaba okulekera awo okumuwogganira n’agaana alifa tazzeemu kutawaanya bakola byaabwe Omukyala ono mu ngeri y’okwekaza, ajjeeyo kamulali mu nsawo ye n’amukuba omusajja ono mu […]
Kibaweddeko
Poliisi eyitiddwa bukubirire era neyebulungulula ekizimbe omubadde muva amaloboozi buli g’alowoozezza nti ga Muntu alumbiddwa ababbi Nga bamaze okwetoloola, bafunye kizindaalo nebalagira ababbi okufuluma mu bwangu Kibabuseeko okutuuka munda nga waliwo omusajja eyezannyira omuzannyo gwa chess nga y’abadde anyumirwa akazannya Bino bibadde mu ggwanga lya […]
KKapa ekuba eddubi
Kizibu okusanga kkapa ewuga naye eno emenye likoda. Kkapa eno ey’omwaka ogumu buli lw’ewubaala ng’ekka mu mazzi ekuba eddubi obutawukanako na mbaata Kati nno waliwo kkampuni egitaddemu ensimbi ng’egikoledde ka jaketi akawuga nga Kalanga eddagala erissibwa mu mazzi g’okuwuga Eddagala lino yadde likola ku mazzi […]
Enyumba y’emizimu ekimazeeko abantu
Omusajja eyewaddeyo okunonyereza ku mizimu ogyasenga mu nyumba okuva mu mwaka gwa 1912 yekyukidde neyefumita ebiso Robert Laursen ow’emyaka 37 addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka Enyumba eyogerwaako kigambibwa okuba nga yafiiramu abaana mukaaga n’abakulu 2 abakubwa obubazzi era nga yafuuka kyabulambuzi olw’ebigambibwa nti kati […]
Abeeyambulidde mu Biiici bibawedde
Abantu ababadde bakungaanidde ku lubalama lwa Mayanja nga bali bukunya babunye emiwabo oluvanyuma lw’eryaato okuyingizaawo abantu nga balina obubonero bwa Ebola Abantu bano babadde 16 nga bafirika okuva mu bugwanjuba era nga bagobedde ku mwaalo gwa masipalomas ogusangibwa mu ggwanga lya Spain Ababadde mu kuzannya […]
Bbiya amusabidde mu swagga
Omusajja avuze emmotoka butereevu okutuuka mu bbaala webasabira omwenge n’asaba eky’okunywa Gordon Milligan tatawaanye kusiba kuva mu motoka eno ng’ayiseewo buyisi n’emotoka ye okutuuka munda olwo n’asaba bamuwe ka bbiya Ababadde mu baala bakanyizza nduulu na kubuna miwabo naye ng’omusajja abayisaamu mmotoka Kkyo ekizimbe mw’alese […]
Munnamawulire alimbye aswadde
Bannamawulire bamanyiddwa boogera kuno na kuli. Wali obadde ku mpewo n’owulira ng’aliko akulimba Kati mu ggwanga ya Bungereza, abadde ku mpewo asabye ettaka limumire bw’awakanya nti Ireland teri mu Bungereza Ono akanyizza kweseesa majemulukufu naye nga tewali kyakuzza Kati manyi bangi balowooza nti mbalimba
Omusota gumulumbye mu kabuyonjo
Omukyala abadde ali ku mirimu emikulu mu kabuyonjo, bimuweddeko omusoto ogwakula bwegumubozze Omukyala ono ow’emyaka 57 enzaalwa eya Thailand, omusota guno gumusimbye amannyo ku mukono n’okugezaako okumwetoloola okumukuba ekigwo Wabula akutte olweeyo lw’ekiti n’akuba omusota guno nga bw’ayita nemuwala we omuyamba neyetawuluuza ku musota guno […]
Kanyonyi akasimbye ku bbaala
Omusajja abadde avuga enyonyi enyonta y’omwenge n’emukwata, agisimbye wabweeru wa baala olwo neyewaamu Omusajja ono enzaalwa ye Australia olumaze okugisimba, yesozze ebbaala n’anywamu Poliisi nno ayanguye okumussaako kawunyemu kyokka ng’ayiseewo . Ekyewunyisa omusajja ono agambye nti talina bbaluwa evuga nyonyi kyokka takoonangako
Kimuweddeko
Mu ggwanga lya China omukyala ayagadde okukakasa oba bba tamulekeewo nga bakaddiye amalidde mu maziga Omukyala ono abadde agenda okugattibwa ne bba asazeewo bamusseeko make up amufuula omukadde era nebakimukolera Omugole omusajja olumukubyeeko eriiso n’ava mu mbeera n’atandika okuyomba era nga yyo embaga wetwogerera esaziddwaamu