Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Ono ayoya toyileeti pepa

Kati abakyaala abasinga bwebaba embuto balya ebintu ebyenjawulo, abamu balya bbumba ate abamu nebakomba ne ku vvu. Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omukyaala atayosa lunaku nga talidde ku toyileti pepa. Omukyaala ono ow’emyaka 25 wa nzaalo 5 ategezezza nga olubuto bwelwaweza emyezi 2 y’atuuka nga tayagala kulya kintu kyonna okujjako toyileti pepa paper. Kati gwe omukyaala eyali olubuto…

Read More

Kamulali amukozeeko

Kubamu akafananyi ng’egenze emanju n’okozesa ekikokooma nga kiriko kamulali. Kati omusajja gwebateze kamulaali akubye omulanga n’okwetakula ebitaggwa olwa kamulali ono abadde amulagala okufaako obufi Akimukoze muganzi we agamba nti naye abadde amuyingiza obuzannyo bw’atategeera Omukazi ono okumanya tasaaga bino byonna abitadde ku katambi era kakalabwa abantua basoba mu bukadde 3.5

Read More

Agattiddwa n’embwa

Omukyala enzaalwa ya Bungereza asazeewo okugattibwa mu bufumbo obutukuvu n’embwa ye. Amanda Rogers afumbiddwa embwa ye gyebayita sheba ku mukolo makeke ogubadde mu ggwanga lya Croatia Omuwala ono agambye nti embwa ye temuvangamu yadde olunaku olumu kale nga ky’avudde asalawo basibe empeta  

Read More

Aba Sauna babasobodde

Mu ggwanga lya Austria , ab’obuyinza basazeewo kukozesa bakuumi ababeera obukunya okulaba abeekola obusolo mu zi sawuna Bano bagamba nti babadde tebasobola kukwata bantu basigala bwereere ng’ate bakozesa abambadde nga y’ensonga lwaki basazeewo okukozesa abali obukunya Abasirikale bano bassiddwa mu sauna mwenyini nga mwebatuula nabo nebefuula ba kasitoma

Read More

Omusajja akikoze munne

Omusajja eyasanze essajja nga likaka muwala we omukwano akimukoze. Omusajja ono tayombye na musajja ono ng’amuyise ewaka ku kijjulo n’okumugabira muwala we mu butongole Wabula  nga bagenda mu maaso n’okulya, omusajja ono amukyukisse n'atand’ka okumutulugunya okutuuka lw’amusse Omusajja ono ky’akoze kwekusiba musajja munne ku katebe olwo n’atandika okumukuba ku bitundu bye eby’ekyama okutuuka lw’amusse ng’amulanga kuzannyira ku muwala…

Read More

Omwana omuto akedde okukwana

Edda abaana nga balwaawo okutandika eby’ekikulu. Ssi bweguli ennaku zino , mu ggwanga lya America, omwana ow’emyaka ena awandiise ebbaluwa ng’asuuta akawala bwebasoma era eno erese bangi nga bawunikiridde. Maama w’omwana ono Jennifer skinner, y’assizza ebbaluwa eno ku mukutu gwa yintaneti mu kwewunya kyokka wetwogerera ng’ekutte bangi omubabiro Mu bbaluwa eno, akaana kano katenderezza kaako okuba akalungi okukira…

Read More

Ka pajaama kazze

Waliwo ka pajama k’abasajja akakoleddwa nga kano omusajja bw’akambala taggwaamu maanyi ga kisajja Abakoze akawale kano beeba kkampuni ya Belly Armor esangibwa mu Manhattan Newyork. Ka pajama kano era kayamba abasajja abateeka amasimu mu mpale obutakosebwa masanyalaze gavaamu Ka pajama kano kagula doola 49 nga mu za wano gye mitwalo 132,300.

Read More