Waliwo omukyala akwatiddwa lwakugezaako kulumako bba obusajja
Omusajja webamugwiriddeko abadde atamidde kyokka ng’omusajja abadde ayombesa omukyala obutaggwa kumusaba ssente.
Ono wa mu America
Omukyala Nakawere abadde mu supamaketi ng’agula ebintu by’aawaka kimuweddeko omusajja bw’amutuukiridde ng’amusaba ku mata g’omu mabeere ge
Ekisajja kino ekirabise nga kyonna kiwombeefu kifukamidde ku maviivi nekisaba akkirize amuyonseeko amuwe ssente.
Oluvanyuma kizuuliddwa nti omusajja ono yasomye nti amata g’omubeere gazimba omubiri nga naye abadde ayagala kuzimba gugwe
Omusajja gwebayombesezza obutawasa tatawaanye aliko omukazi gw’akutte ku mpaka z’amutwalira bakadde be.
Omusajja ono ow’emyaka 32 nga nzaalwa ye China yasoose kugenda mu bakadde be nabamuyombesa obutawasa
Ono yafunye awali ekisiko n’abaka omuwala ono ng’ayitawo, n’awuwalula kutuuka waabwe nti ye mukyala we
Omuwala ono byamuweddeko naye n’atandika kumwenya
Waliwo akaana akasinzidde mu lubuto lwa maama waako nekawanika ekigalo mu ngeri egamba nti byonna biri bulungi
Abagalaana ababiri okuva mu Bungereza mu kibuga Manchester babadde bagenze mu ddwaliro kukebera mbeera omwana waabwe mw’ali era nebakikakasa bw’abalaze ekigalo.
Abafumbo abaagenze okwewaamu banywedde nebagangayira okukkakkana nga beebase mu kipipa kya kasasiro.
Abakungaanya kasasiro bazze nebayoola buyoozi kasasiro okukkakkana nga bamuyiye mu kimotoka
Bano wano bazuukuse nga bali wakati ku kimotoka kya kasasiro era ekyaddiridde nduulu.
Namukadde w’emyaka 82 akwatiddwa lwakubba kalifuuwa ow’ebbeeyi mu dduuka ng’ayagala okusikiriza abasajja
Omukyala ono enzaalwa ya America agamba nti ennaku zino abasajja babadde tebakyamukwana kwekusalawo efune yo akabayingula emeeme
Omukyala ono yetondedde ab’edduuka ng’agamba nti naye abadde anoonya mukwano.
Mu ggwanga lya America ,waliwo omukyala azadde omwana nga kilo mukaaga n’ekitundu
Omwana ono atandikiddewo okulya enyo ng’ama g’anywa geeganyweebwa omwana ow’emyezi esatu
Omwana yeeyakasinga okuba omuzito okuzaalibw amu America
Ekyewunyisa nti omwana ono yazaaliddwa bulungi nga nyina tatungiddwa yadde wuzi emu.
Omusajja abadde akuba ezzike ekifananyi kimupachizza empi nebimukalira ku matama
Ono abadde mu ggwanga lya Rwanda ng’agenze kulambula
Ezzike lino erigambibwa okuba nga linyweddemu lyongedde okutabuka okukkakkana nga limulemesezza okulikuba ekifananyi
Omusajja eyabba pizza okuva mu kifo ekiribwaamu emyaka 13 emabega agikomezzaawo
Omusajja ono agambye nti pizza eno weyagibbira nga mwavu muzibu ate ng’omwana we omu gweyalina muyala
Omusajja ono kati eyagaggawala agamba nti bulijjo kimulumiriza nga y’ensonga lwaki akomezzaawo pizza eno.
Omuvubuka abadde akooye okubeera ku kompyuta ate nga yagimanyiira yetemyeeko omukono.
Omuvubuka ono ow’emyaka 19 okuva mu China alese akabaluwa mu kisenge kye ng’agamba nti asazewo okwetemako emikono okusobola okwewala okukwata ku kompyuta
Omuvubuka ono okumanya abadde akooye n’omukono gweyetemyeeko afubye ogukweka kyokka nga gumaze neguzuulwa