Omusajja enzaalwa ya Bungereza abadde agenze okukyalako mu Florida aggaliddwa lwakufuka mu kyuuma ekikola icecream
Andrew Wood ow’emyaka 41 awabiddwa omukuumi amulabye ng’akola ekikolwa kino.
Omusajja ono agambye nti abadde ayagala kulaba icecream bw’afanaana ng’atabuddwaamu omusulo
Enfudu eyabula okuva ku mukama waayo kyaddaaki emutuseeko.
Enfudu eno ey’emyaka 109 emaze omwaka mulamba ng’enoonya mukama waayo
Nanyini nfudu eno Wendy Stokes ow’emyaka 74 agambye nti enfudu eno yamubulako nga bali mu nnimiro kyokka nga musanyufu nti ekomyeewo nga teriiko buvune
Ekinyonyi kya Kasuku ekyamanyiira okunywa ka chai ka kaawa kata kikole akabenje oluvanyuma lw’okugezaako okumwetabulira
Kasuku eno ekutte ekikopo kya mukama waayo mg’agenda mu maaso n’okuvuga era omukyala ono mu kutya atadde sitelingi emotoka n’eva ku kkubo kyokka nga tewali akoseddwa
Bibadde mu kibuga Pennsylvania.
Mu ggwanga lya Japan ka kkapa akawoomerwa omuceere okira emmese kasizza abantu enseko.
Ka kkapa kano kakeera kuguuma ku kyuuma ekifumba omuceere nga kati tekyakyazannya
Kano nno omuceere gakuliirako nakati
Mu ggwanga lya argentina, omusajja eyelippye ku ka ssemufu n’awaya nako akaboozi k’ekikulu agudde eri n’afa
Ka semufu kano asoose ku kakola n’akasiiga ne lipstick ku mimwa kko n’okukambaza wiivu era neyekola ekigenyi
Kigambibwa okuba nti ka semufu kano kabaddemu empiso mu bigoye ebyakakoze era yeeyafumise omusajja ono ng’ali mu kikolwa n’afa
Omusajja avunaanibwa okubba banka akimazeeko omulamuzi bw’ajjeemu empale neyeyambira mu kkooti n’oluvanyuma obubi bwe n’abulya
Mu kutya omulamuzi ayimirizza kkooti okumala akabanga.
Bino bibadde mu ggwanga lya California ng’omusajja omunaanibwa agambibwa okubaamu Katwe wungu.
Waliwo omwana azaaliddwa ne nnamba 12 ng’emwetimbye mu kyenyi
Omwana ayogerwaako azaalidwa mu ggwanga lya South Africa mu kibuga Johanesburg nga n’abasawo tebannaba kutegeera kivuddeko mbeera eno
Ekyewunyisa nti omwana ono ali bulungi ddala nga talina yadde bulwadde
Omu ku bannabyabufuzi mu ggwanga lya Ukraine akyaaye mukyala we lwa bifananyi by’amuwerezza okumusikiriza
Karen yekubisizza ebifananyi nga yeemolera ku motoka ye era n’ebimu n’abissa ku kitimba
Omusajja ono ensonga azituusizza mu kkooti ng’ayagala babawuule nga mukyala we amulanga kumuswaza
Omukyala agenze okumukuba empiso egezza akabina omulundi ogw’okuna afudde bufi
Reid ow’emyaka 34 ng’abadde mutuuze mu Dallas Texas agenze mu saluuni bulijjo mw’alaga okwongera ku kabina ke
Bannyini saluuni eno olulabye nga bitabuse nebadduka kyokka nga babbye essimu ye ne wallet ye.
Kakati abantu abagaala abantu baabwe bbo bakyaliwo
Waliwo omusajja enzaalwa ya bufaransa agezezzaako okukusa mukyala we okumuyingiza amawanga ga bulaaya.
Omusajja ono nga mukyala we nzaalwa ye Russia, amupakidde mu keesi n’akunnumba
Abasirikale abalengedde amagulu g’omukyala nga galingiza beebamuyimirizza era okuggulawo, omukyala n’abuukamu