Bya Prossy Kisakye
Eyali omuyambi w’eyali omubaka wa Kawempe North kati omugenzi Mohamad Ssegirinya ono nga ye Mohamad Luwemba alangiridde mu butongole nga bwagenda okuvuganya ku kifo ekyo nga tarina ticket ya kibiina kyonna kwajjidde.
Luwemba okulangirira bino kiddiridde ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mukama we kyeyali akiikilira okugaana okumuwa ticket yakyo mu kusunsulamu okwaliwo gyebuvuddeko ku kitebe ky’ekibiina e Kavule ku bbiri mu Kampala.
Okulangilira bino, asoose kutalaaga emiluka gyonna 9 egikola Kawempe North, gyagamba nti abalozi baayo bamusabye yesimbewo.
Ono ategeezezza nga bwagenda okukozesa kabonero k’essaawa kwo nga kwatadde okwessamula ebibadde bibungesebwa nga bwagenda okuwagirwa ekisinde kya Democratic Alliance ekikulirwa Owek Mathias Mpuuga.
Abantu abasoba mu 10 bagambibwa okwesowolayo okuvuganya mu kifo kino okuli munna Faridah Nambi (NRM), Erias Luyimbazi Nalukoola (NUP), Sadat Mukiibi (FDC) amanyiddwa nga Aganaga n’abalala.
Okusinziira ku kakiiko k’eby’okulonda, okulonda mu Kawempe North okw’okujjuza ekifo kino kwakubeerawo nga 13 omweezi ogujja.
End