Bya Mike Sebalu
Abakulembeze bekibiina ki National Unity Platform (NUP) bategeezezza nga bwewaliwo munnabwe awambiddwa akawungeezi ka leero abantu negyebuli eno abatannaba kutegerekeka.
Omuwambe ategerekese nga ye Fred Nyanzi Ssentamu abangi gwebamanyi nga Chairman, nga y’akulira eby’okukunga mu NUP.
Kigambibwa nti abamuwambye ababadde mu ngoye ezabulijjo kyokka nga bambalidde emmundu.
Okuzinziira ku ayogerera NUP Joel Ssenyonyi, Nyanzi bamusise mu motoka ye bw’abadde ava ku kitebe ku bbiri nebamuteeka mu motoka ekika kya drone nebagenda naye nga n’okutuusa kati tebamanyi waali.
Ssenyonyi agamba nti nti bayungudde bannamteeka babwe okutandika omuyiggo oguzuula ono gyatwaliddwa n’okumanya ensonga ezimukwasizza.
Omwogezi w’amaggye Felix Kulaigye bwetumutuukiridde ku nsonga eno yeganye okubaako ky’amanyi ku kubuzibwawo kwa Nyanzi.
End