Bya Mike Sebalu Abakulembeze bekibiina ki National Unity Platform (NUP) bategeezezza nga bwewaliwo munnabwe awambiddwa akawungeezi ka leero abantu negyebuli eno abatannaba kutegerekeka. Omuwambe ategerekese nga ye Fred Nyanzi Ssentamu abangi gwebamanyi nga Chairman, nga y’akulira eby’okukunga mu NUP. Kigambibwa nti abamuwambye ababadde mu ngoye ezabulijjo kyokka nga bambalidde emmundu. Okuzinziira ku ayogerera NUP Joel…
