Skip to content Skip to footer

Ab’oludda oluvuganya babaganye okulaba Dr Besigye

Bya Bbara Anyait
Abakulira ekkomera e Luzira bagaaye abakulembeze b’ebibiina by’obufuzi okuyingira e komera lino gyebabadde bagenze okulaba ku Dr. Kiiza Besigye.
Mu bano kubaddeko abakulembeze okuva mu kibiina ki National Unity Platform (NUP) abakulembeddwa president waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu gattako n’aba Alliance for National Transfromation (ANT) nga bakulembeddwa Winnie Kiiza n’abalala
Ngáyogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwókubagaana okuyingira Robert Kyagulanyi Sentamu ategeezezza nga bwebafunye okutegeezebwa nti Dr Besigye bwa omunaffu atasobola kusisinkana muntu yenna.
Olunaku lwéggulo Dr. Besigye yatwaliddwako mu kalwaliro akali mu bitundu by’e Bugoloobi okufuna obujjanjabi.
Kigambibwa nti ono yagaana okuteeka akokulya konna mu lubuto kati saabiti namba eyise nga ne lweyasemba okulabikako mu Court nga 14 omweezi gw’okubiri ng’embeera elabika teyeyagaza.
Abasawo wansi w’ekibiina ekibagatta ki Uganda Medical Association; nabo bawandiikidde Omukulembeze w’eggwnaga Yoweri Kaguta Museveni alowooze ku kyókukkiriiza Dr. Besigye afune obujjanjabi ngékizimba tekinnasamba daggala.
Ne ku mikolo egy’okujjukira obulamu bweyaliko Ssabalabirizi wa Uganda Janan Luwum e Mucuni ku lunaku olwa Sunday, Ssabalabirizi Samuel Kazimba naye yasinzidde ku mikolo gino násaba gavumenti yekube mu kifuba Dr. Besigye asonyiyibwe nábalala abalinga yye nga bali mu makomera.

Leave a comment